Love, this is a special call to you, I'm guarded and it's because am still healing "a sweet melody either eee"
Hellooo, mukwano anfiirako, Yenze Ale wo dear akubuuzaako.
Wasuze otya baby andowoozako nange bwentyo nasuze mbirowoozo
Katino olukedde emmeeme gyesula ke kassimu kano nkakubye lwa bulungi bwo
Wangamba onjagala, mukwano nenkimanya
Naye no bambi nze love nagita dda nyo
Mutima gwange nga bagumenya nenkaaba kubanga love.
Kati nagiziika naye ndaba ezuukira love omanjaki nkikuliwe.
Onjagazaki love mazima ekyo kyononya ekikulemeza mbulamu bwange, obeera onondoola, kiki enyo onsomooza uwo uwoooo, oh,"love ndeka. "
Eyo gyempitira oluusi ontaayiza obeera ofungana omutima gwange, nkulaba osooberera era nonkonkona kiki nayeee, eeehh "nakuta ndeka "
Nze simanyi oba luli eri bwali buto, nali nkusembezza nga tuba ffembi
Nabuli kyenkola nga love gwe ankulembera naye gyebakira nga onsudde mu nvubo
Ez'abafere ba love banjuza mitima gyabwe nga tewali kibakusa
Onoonya ongambaki nga nakwesiga gwe notampa buddeeee eehh
Laba ndeka nakumala nakunaaba nemubwongo bwange okukujjukira nesikamu
Nali nakuziika naye ndaba ozuukira love omanjaki nkikuliwe
Onjagazaki love mazima ekyo kyonoonya ekikulemeza mbulamu bwange, obeera onondoola, kiki enyo onsomoza uwo uwooo, ohhhh "love ndeka,"
Eyo gyempitira oluusi ontaayiza obeera ofungana omutima gwange, nkulaba osoberera, era nonkonkona kiki nayeee eeehhh
Love ndekaaaa, mmmhuuuu, eee.....
Ddala nekweke wa love gyotansaange kuba agayaaye gasusse okunkemekereza
Najjuka nava eri mbu akapeesa kaakutuse
Nyambaaki bambi thithobola yita bukunya
Tewali kilala love gwe obasindika mbulamu bwange nga oyagala era okyankalanye
Wali munywanyi naye kati nakunaaba
N'okukulabako nti mba njoya mpasuke
Nakoga nemba nga omutuunge ku musito lwakuba gwe love. Nze ndekaaaaa
Onjagazaki love mazima ekyo kyonoonya ekikulemeza mbulamu bwange, obeera onondoola ,kiki enyo onsomooza uwo uwooo, ooohhh "love ndeka "
Eyo gyempitira oluusi ontaayiza obeera ofungana omutima gwange, nkulaba osoberera era nonkonkona kiki nayeee, eeehh "nakuta ndeka"
Nali nakuziika naye ndaba ozuukira, love omanjaki nkikuliweeee, nze ondekeee.