Gwasembayo - Gabie Ntaate

Gwasembayo

4.5 of 5 stars
274 votes
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Gwasembayo Lyrics

Tuleme kwerabira mangu

Nti mukama tatulekulira

Nti era amaanyi galina

Bwoja eyo ayita nago

Tuleme kwerabira mangu 

Nti byetuwulira abiwulira

Nobulumi bwoyitamu

Amala kubupima 

Oba obusobola

[Chorus]

Tulwazanga twemulugunya

Twefulira ddala abatergeera 

Embeera okusinga oyo

Eyagissa mu nkola

Tufiirwanga twekubagiza

Twefulira ddala abalumiddwa

Okusinga oyo taata 

Atulaba mu bulumi

Nga naye tulina kusaba

Nti kyetukozeko tukoze

Naye ate gwesambayo

Okusalawo kwo mukama

Tewaliyo akuddamu

Tujanjabye tufubye

Naye ate gwe asembayoo

Obusawo gwe mukama

Tewaliyo abuvuganya

 [Verse 2]

Tuleme kwerabira mangu

Nti omulabe ye amulabisa

Maaso Nti

Era amulabisa maaso

Era amulaba wayimiride

Nga akukuba obusaale

Tuleme kwerabira mangu

Nti yabuyimiriranga mu ma so

Nga gwe oli eri olya butaala

Anti osomose okufa nokuziyira

[Chorus]

Tulwazanga twemulugunya

Twefulira ddala abatergeera 

Embeera okusinga oyo

Eyagissa mu nkola

Tufiirwanga twekubagiza

Twefulira ddala abalumiddwa

Okusinga oyo yesu

Atulaba mu bulumi

Nga naye tulina kusaba

Nti kyetukozeko tukoze

Naye ate gwesambayo

Okusalawo kwo mukama

Tewaliyo akuddamu

Tujanjabye tufubye

Naye ate gwe asembayoo

Obusawo gwe mukama

Tewaliyo abuvuganya

Kyetukozeko tukoze

Naye ate gwe asembayo

Okusalawo kwo mukama

Tewaliyo akuddamu

Tujanjabye tufubye

Naye ate gwe asembayo

yegwe nantameggwa

Yeggwe kabaka

Obusawo bwo gwe mukama

Tewaliyo abuvuganya

Kagwirawo