Nkufiirako - Superson Minstrel

Nkufiirako

5.0 of 5 stars
1 votes
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Nkufiirako Lyrics

Intro:

Waliwo ebyali bisikasika nga bimpikapika luli nga sinakulaba ah nali nno sinalabuka nga wenkukwatako ekene teliwela ah naye kati walabusa ah, yegwe eyalalula ah ah, wade walalula  kugwe kwenasibila ah ah

Chorus:

yegwe weka gwe nina, nkufiirako oh yegwe gweneyagalila ah nkufiirako oh a'bebigambo newebeyogerera sikyabafanako oh abalala nabelekeleza ah sikyabalabawo oh

Verse 1:

Oli omu weeka, oli eli mu mutima muuda abalala nagoba dda oli omu weeka teli mulala yeena yegwe gwenalabanga gwenasabanga mu bilooto byange eh bambi tonumyanga newendwa jendaze oliba omu weeka omutima gugwo gwoona oli omu weeka teli mulala yeena ah katinno amazima nkubulide bambi tonjuwanga, omutima gwange nagukwasa bambi tonumyanga sili kwaana era silyegomba ekyo kyekigambo kyange oli mukwano gwange oli owomunda kankuwe ku byama byange, nsiima lumu sekyanga yegwe eya siimibwa silyekyusa ahhhhhh 

Chorus

Verse 2:

Nalonda na da amazima na siima na da kabogere ebigambo byabwe yegwe alina omutima gwange nga omugaga yeena yegwe gwe mpita emaali yange, gwe bulamu bwange leka ngoberere omutima gwange eh yegwe gwe nayagala, amazima era  gwe eya wangula. Yegwe eya londebwa, amazima era gwe eya siimibwa. Nno lwekyo nsaba kimu kabogere tondekangawo, togenda. Mu mutima gwange yegwe weeka gwe nina ah tewekyanga newendiba nga ndudeyo, yoona jendiba ndaze eh, sili kuswazza. Nkwe kumiide wegaba mazima goyoya ah sili kulimba.

Chorus

Verse 3: ki kwano kyange, jangu nkuwe omutima gwange nze nno wankuba dda nkwagala kufa gwe taanu wange jangu eno twewembenje a'bebigambo ako kekalimo kabwe kabogere ebigambo byabwe, tuffe ku mukwano gwaffe kankuwe e'kigambo kyange, sili kukyawa, tonkyawanga.

Chorus x2

Kagwirawo