Kuuma - Migjack

Kuuma

5.0 of 5 stars
1 votes
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Kuuma Lyrics

Olugendo lw'omuwanguzi lubeeramu ebisoko

Okutuuka ku buwanguzi nga oywezezza ekitala

Abamu bafiira mu kubo nebeeresa obulamu 

Kulikila maama, kulikila omwana yeeye

Kulikila maama, obuwanguzi bubwo obututte yeeye

Kulikila maama, kulikila omwana yeeye 

Kulikila maama, obuwanguzi bubwo obututte yeeye

Otunuulira maama atalina ka sente

Alajanira taata taata talina pulani

Asiibula ewaka mbu nno ngenze mu kuyiiya

Akomawo ewaka mummy amusanga mu miranga

Obaddeki mukwano ndeese sente ziizo

Sente zaalina kale teziwera mutwalo

Tezigula sukaali tezigula sabbuuni

Baagala ne za boda maama kit eri olwo

Nootunuulira bambi nobasaasira

Embeera nga ebagoya awatali ajunna

Balindirira Mukama tannalabika

Esuubi liggwayo obudde budduka

Maama kekaseera omwana awulira atuuse

Akoleki bannange awatali ka sente 

Eyo yembeera mwebali kati

Ba nnakazadde b'eggwanga tebalina abayamba

Awo wensabira abalina ku sente

Twandivuddeyo kale ne tubawa support 

Kurika maama, kurika omwana yeeye 

Kurika maama, obusinguzi erizooba nobwawe

Kurika maama, kurika omwana yeeye 

Kurika maama, obusinguzi erizooba nobwawe 

Talina kimulema omukyala omuzadde atetenkanya nnyo

Atuula tatuula ayimuka tayimuka omwana akirire

Amajaani nnwya nnwya nnwya nnwya nnwya 

Sukaali nnwya nnwya nnwya nnwya nnwya 

Maama maama maama 

Maama maama maama 

Mukazi wattu,  yenna atunula tabitegeera

Nalindirira, bambi nga akalimi kagaanye

Omutima tu tu tu   tu tu   tu tu tu

Amagulu ganfamba

N'obulamu sibuwulira

Musawo baako kyokola 

Mpulira bubi bambi kuno sikwekoza

Abaana abalowoozaako 

Amakaage agalowoozaako 

Abazadde abalowoozaako

Ne gwatannazaala amulowoozaako

Yenna nanyogogga bambi 

Nasalawo kati kulinda kimu Mukama.

Namugereka Mukama yaamanyi

Kyonna nze kyannampa kyentwala

Namugereka Mukama yaamanyi 

Kyonna nze kyannampa kyentwala 

Kulikila maama, kulikila omwana 

Kulikila maama, obuwanguzi bubwo obututte yeeye 

Kulikila maama, kulikila omwana yeeye 

Kulikila maama, obuwanguzi bubwo obututte yeeye 

We should emphasize the point of care 

Mother to deliver under maximum care

That can be if we are all very fair 

When we pledge never to pledge air

A promise is a debt 

We are all right 

If we shout over a very long wait 

A promise is a debt 

We are all right 

If we shout over a very long wait 

Kurika maama, kurika omwana yeeye 

Kurika maama, obusinguzi erizooba nobwawe yeeye 

Kurika maama, kurika omwana yeeye 

Kurika maama, obusinguzi erizooba nobwawe yeeye.

Kagwirawo