Erinnya lya Yesu ddagala
Liwonya ggwe omulwadde alwala
Konkoleki Yesu gwenjagala
Ono ssirimuleka kubanga yannyamba
King Zion
(CHORUS)
Yesu nze yansumulula, Yesu yanzijako ebibi
Ssikyalina kyentya, Ssikyalina gwentya Yesu nze yandokola ×2
(FIRST VERSE)
Wennalinga ku ssomero,
Nga bansasulira fees,
Naye nga amagezi agasoma gaabula,
Wennasaba Yesu wange
Naddamu esaala zange
Wenjogerera nze akulembera mukibiina
(CHORUS)
Yesu nze yansumulula, Yesu yanzijako ebibi
Ssikyalina kyentya, Ssikyalina gwentya Yesu nze yandokola ×2
(SECOND VERSE)
Lengera ono agamba amagezi, Wennalwala nenkomayo
N'abasawo nebampaayo
Nebagamba ono watuuse atulemye
Wennali nneebase nenkaaba
N'abazadde nebansabira
Kati wenjogerera nze ndi mulamu,ssikyali mulwadde.
(CHORUS)
Yesu nze yansumulula, Yesu yanzijako ebibi
Ssikyalina kyentya, Ssikyalina gwentya Yesu nze yandokola ×2
(THIRD VERSE)
Yakutula ebikoligo
Nzijukira baamukuba emiggo
Ssirimba abaavu abagaggawaza
Olwa katonda enjegere zaakutuka aaha
Ngenda mmwagala kale paka last
Ono ewaka ya payinga rent
Nemukibiina nze mbeera first
Mubaana be nze ndi ku list
Ono akwerabiza n'ebiri past
Teri amusinga ono ali best
Yajja n'abaavu ku street
N'abatuuza neba president
Byakoze ssirimwerabira
Ebirungi byonna yampimira
Mmwebaza kuba yandokola
Nessitaani nnamuwangula
(CHORUS)
Yesu nze yansumulula, Yesu yanzijako ebibi
Ssikyalina kyentya, Ssikyalina gwentya Yesu nze yandokola ×2