Ahaaaaa....hmmmmm hmmmmm
Ahaaaaa...hmmmmm hmmmmm
Chorus
Abeerawo Yesu Oyo, Abeerawo Yesu Oyo
Abeerawo Yesu Oyo, NGA bonna bagenze
Abeerawo, Abeerawo, Abeerawo, Abeerawo
Abeerawo Yesu Oyo, Nga byonna bigenze
Verse 1
Nabiwulidde Julie bangambye
Report y'omusawo ekanga nnyoo oo
Nti ekilwadde kikulidde nnyo ekya cancer
Tewali suubi ddala
Enganda zo zikuwaddeyo oooh
N'emikwano gyo gitidde nnyo
Naye gwe tolina kutya Julie
Waliwo Yesu, nsabye omuwe obulamu bwo
Kubo, mazima, bulamuu uuu
Kasita omweewa Yesu
Kakibe ekiwonvu eky'okufa Abeerawo awo
Nze mulabye Nga anyamba
Verse 2
Kati nsaba amaziga sangula
Manya nti abantu b'ensi bwebatyo
Mu bizibu ebingi badduka
Ne mubulwadde batukoowa
Kazibe ensimbi toziwanga bwesige
Waliwo ebizilema
Obwesige bwo busse mwoyo
Ohh oohh Yesu ye mukwano abaawo
Omugumba akufuula omuzadde eeh
Omwavu n'akuwa obugagga
K'obe omusibe kasita omuwa obulamu
Era akufulumya ekommera
Verse 3
Ekimala kimala ensi gitte
Obulamu bwo obuwe Yesu afuge
Akunyige ebiwundu by'olina mutima
Era akuwumuze
Bwo musembeza akuwa omwoyo we
Oli omutukuvu, n'abaawa nga akukuuma
Ffe tulina obujulizi, gwe senga Yesu
Togenda kwejjusa
Kubanga Abeerawo awo oohhh ohh
Mubwavu nga akukuuma
Ne mumaziga amaangi
Abaawo Yesu
Akuwa oluyimba n'oyimba