Zakayo Ne Matayo - Pallaso

Zakayo Ne Matayo

4.4 of 5 stars
268 votes
Download the Howwe Music App
Howwe App

Share this Song

Zakayo Ne Matayo Lyrics

Zakayo amwagala (Lafiti)
Ne Matayo amwagala
Baur
Ndiwulira vva mu kasooli
Wululululululu….
Baamuliira mu kasooli

Gwe naye Zakayo naawe
Lwaki ononooza nnyo naawe?
N’ebiba bitakukwatako
Mukyala wo muwe emirembe
Bw’ogira n’omutwalako out
Bw’ogira n’omutwalako mu mazina
Kannyabo kakwekuumidde
Naye ate oyomba n’ovuma!
Matayo n’amwegwanyiza
Matayo ye n’amuwa obudde
Matayo n’amulaga love eriko
Nga gwe oli eyo weepima!

Kyusaamu kyusaamu (Zakayo)
Kyusa mu mbeera zo
Omukyala muwe obudde ewaka
Matayo ajja kumweddiza
Kyusaamu kyusaamu (Matayo)
Kyusa mu mbeera zo
Matayo ate naawe okyuse
Eby’ensi tebitwawula
Zakayo amwagala
Ne Matayo amwagala
Ndiwulira vva mu kasooli
Baamuliira mu kasooli

Gwe naye Matayo naawe
Obanga ne weekoma
Okola olumu ekituufu
Tolowozanga by’okola
Zakayo munywanyi waffe
Ssi kirungi kumwekiika
Yadde enjaga gy’oyaka esika
Matayo komya eby’okwetega

Kyusaamu kyusaamu (Zakayo)
Kyusa mu mbeera zo
Omukyala muwe obudde ewaka
Matayo ajja kumweddiza
Kyusaamu kyusaamu (Matayo)
Kyusa mu mbeera zo
Matayo ate naawe okyuse
Eby’ensi tebitwawula
Zakayo amwagala
Ne Matayo amwagala
Ndiwulira vva mu kasooli
Baamuliira mu kasooli

Bambi abeera eyo
Bambi abeera eyo (wa Zakayo)
Ng’omwoyo guli eyo
Ng’omubiri guli eno (wa Matayo)
Bambi abeera eyo
Bambi abeera eyo (wa Zakayo)
Ng’omwoyo guli eyo
Ng’omubiri guli eno (wa Matayo)
Ffe tuli ba nnyumba emu
Kiki eby’ennyumba bitwawula?
Oluganda bita tebyatika
Abooluganda temwetema
Matayo n’amwegwanyiza
Matayo ye n’amuwa obudde
Matayo n’amulaga love eriko
Nga gwe oli eyo weepima!

Kyusaamu kyusaamu (Zakayo)
Kyusa mu mbeera zo
Omukyala muwe obudde ewaka
Matayo ajja kumweddiza
Kyusaamu kyusaamu (Matayo)
Kyusa mu mbeera zo
Matayo ate naawe okyuse
Eby’ensi tebitwawula

Top Songs

Kagwirawo