Ekikutambuza - Trumpets Of Hope Choir

Ekikutambuza

5.0 of 5 stars
1 votes
Download the Howwe Music App
Howwe App

Share this Song

Ekikutambuza Lyrics

Otambula ng(a) eyalidde kyokka nga kyoliko gw(e) okimanyi

Owulira bali mbu b'alidde n'ekyeggulo n'okukaaba nokaaba

Olowooza ku b'omukyal(o) embeera gyebalimu wakiri afudde

Sente ze wewol(a) omwezi wasigadde gumu

Ne ku mulimu b'akugoba nywera

Embeera gyoyitam(u) olwaleero waliwo eyagisokamu yesu

Tafa ku buzale bwo

Ayagala kimu nti okirizza

Ekikutambuza ng(a) oyogera yogera manya waliy(o) essuubi gyebugya

Linda

Yesu afaayo

Nange bwendi lwakuba ndi mugumu nti bulikya

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka

Ekikutambuza ng(a) oyogera yogera manya waliy(o) essuubi gyebugya

Linda

Yesu afaayo

Nange bwendi lwakuba ndi mugumu nti bulikya

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka

Omwana wa 'neighbor' yatikiddw(a) owuwo b'amugobedde lweyo

Ab'amasanyalaze baleese 'bill' n'owamazz(i) azagala

Omunnyo mu kaveera gwaweddemu ate tolina yadde (e)kinusu

N'enkub(a) eyagala kutonnya kyokk(a) enyumba y'etonnya

Ebimera mu nimiro byawotose Mukama lwaki nze ntoba

Sabbuuni yaweddewo nywera 

Embeera gyoyitam(u) olwaleero waliw(o) eyagisokamu 

Tafa ku buzale bwo

Ayagala kimu nti okirizza

Ekikutambuza ng(a) oyogera yogera manya waliy(o) essuubi gyebugya

Linda

Yesu afaayo

Nange bwendi lwakuba ndi mugumu nti bulikya

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka 

Ekikutambuza ng(a) oyogera yogera manya waliy(o) essuubi gyebugya

Linda

Yesu afaayo

Nange bwendi lwakuba ndi mugumu nti bulikya

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka

Ogobebwa mu nju nga n'ezifulumy(a) ebintu mu butuufu mpawo

Omufaliso 'inch' zali mukaaga, gwonna gulabe guweddewo

Omugeny(i) ekikumi kye yawadd(e) omwana kimukubizza kuba yakiridde

Ewa 'neighbor' yafumbye nkok(o) ekkola bubi okuwulira akawowo guma

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka

Eby'ens(i) ebikunyiiza munange

Bibaw(o) era bivawo tokoowa 

Laba Kkaana 

bwe yakaaba

Mukama yamuddamu wuliriza

Beera n'essuubi

Manya Yesu akwagala toterebuka

Beera n'essuubi (n'essuubi)

Manya Yesu akwagala toterebuka

Beera n'essuubi (n'essuubi)

Manya Yesu akwagala toterebuka

Top Songs

Kagwirawo