Sitaani wattima
Ajudde enkwe
Kammuteeke wansi webigere mmusambirire
Sitaani wattima
Ajudde enkwe
Nnafuuka muliro wosembera ggwe amanyi
Sitaani, wajja kubba kutta nakuzikiriza, Kutubuzaabuza kutwala bugagga bwaffe ng'obweddiza
(CHORUS)
Omusaayi gwensolo tegwatununula fenna, ne jajja tegwamununula
Omusaayi gwa Yesu gwansumulula, gwamponya era nze gwegwannunula *2
(FIRST VERSE)
Ekireese king zion olwaleero [kwekulojja kwebyo Yesu byazze akola]
Ono Yesu okutulonda yatusaasira [tetwandimazeeko ssinga teyatuzaawula]
Saddaaka ewaffe nga zafuuka saddaaka [nga banoonya kufuna ssente n'emirembe]
Embuzi nkoko nte nendiga byonna byaggwawo [nga twongera kuba bubi tewali kikyuka]
Yesu bweyalaba nga ebyo ssiibisoobole [kwekundokola amangu nga nkyali muto]
Kati bwenzina bakisimba muwogola [mba nzinira oyo eyanunula omwoyo gwange]
Sitaani wattima [fire]
Ajudde enkwe [fire]
Kammuteeke wansi webigere mmusambirire
Sitaani wattima [fire]
Ajudde enkwe [fire]
Nnafuuka muliro wosembera ggwe amanyi
(CHORUS)
Omusaayi gwensolo tegwatununula fenna, ne jajja tegwamununula
Omusaayi gwa Yesu gwansumulula, gwamponya era nze gwegwannunula *2
(SECOND VERSE)
Bwennayingira mu kkanisa
Emizimu kati gyanta
Buli kyennetaaga kyonna nfukamira nensaba
Wadde bajajja baasokanga kkola saddaaka
Omusaayi gwa Yesu gukunaaza n'otukula
Ofuna emirembe muggwe otambula weyagala
Kyoyagala ng'olya
Obukwakkulizo nedda
Oyinza kungamba ki ddala okukyawa Yesu
Nga ndi mu Yesu newondoga nsigala nnyirira
Kanzinemu bakisimba ob'amaggunju
Omusajja annwanira ono nendwadde azimponya
(CHORUS)
Omusaayi gwensolo tegwatununula fenna, ne jajja tegwamununula
Omusaayi gwa Yesu gwansumulula, gwamponya era nze gwegwannunula *2
omusaayi gwa Yesu..., gwegwatununula
omusaayi gwa Yesu...,abange gwegwatununula
Ayiyiyiyi
weebale king zion, ah
Omusaayi gwensolo tegwatununula fenna, ne jajja tegwamununula
Omusaayi gwa Yesu gwansumulula, gwamponya era nze gwegwannunula *2