Mulinze - Damalie Dama

Mulinze

4.5 of 5 stars
37 votes
Download the Howwe Music App
Howwe App

Share this Song

Mulinze Lyrics

(Dama)

Bwenamusisinka eyo mukutayira 

Ye yandaga endowoza ye 

Yadde nasirikka , muli namatira 

Nawulira ebigambo bye ...

Yali walusonyisonyi ,

Nga tantunulira ,

Ng'ayogera omutwe agusulikka ....

Nga nebwemumwenyeza ye atunula bali 

Kyoka omukwano gwe nali nguwulira ...

Mulinze era mwesunze , 

Njagala kudamu kumulaba 

Mulinze era mwesunze

Yeyangambye ansange wano 

Mulinze era mwesunze , 

Njagala kudamu kumulaba 

Mulinze era mwesunze

Yeyangambye ansange wano 

Muleteddeyo enkoma mawanga 

Akome kunze aleme obuna mawanga 

Namunabidde ne kayayana ..

ayayane nga okundaba 

Muletedde nakayukyiyukyi 

kuba yemugenyi atazunza njukyi 

Ninze wemulabira mugambe bwenti ...

Nti I love you too baibey ..

Mulinze era mwesunze , 

Njagala kudamu kumulaba 

Mulinze era mwesunze

Yeyangambye ansange wano

Mulinze era mwesunze , 

Njagala kudamu kumulaba ....

Mulinze era mwesunze

Yeyangambye ansange wano 

(Amujadi Arts)

 Nze nasuze kutebukye nga nesunze...

Nga nindiredde okukulaba...

Mazima obwedda ndi kubunkenke nga ntidde 

Gwe wangambye onsange wano 

Byona byewangamba ,answer nziresse ..

nga nindiredde okukulaba...

Era kenkulabyeko nzena mpewedde 

Gwe wangambye onsange wano.

Top Songs

Kagwirawo